Amawulire
Minisita Kasaijja agobeddwa mu mu kakiiko
Bya Prossy Kisakye,
Akakiiko ka palamenti akakola ku mbalirira yeggwanga kafumuudde minisita we byensimbi Matia Kasaija oluvanyuma lwokulemererwa okulaga ebiwandiiko ebikakasa ensimbi obukadde 130 obwa doola zebagala okubaweebwa ngenyongeza mu mbalirira.
Ensimbi zino zakuliyirira bannyini ttaka ewagenda okuyita omudumu gwa mafuta, okugula emigabo 15% mu kampuni ya mafuta eya East African Oil company
Wabula bwalabiseeko eri akakiiko Kasaija ababaka bamutadde kunninga alage ebiwandiiko ebimulungula kunsonga ezimusabya embalirira eyonyongeza nalemererwa bwebatyo ne bamulagira abaviire alidda nga amaze okwetereza
Omu ku babaka abatuula ku kakiiko kano, Muwanga Kivumbi ategezeza nti Minisita tabadde siriyasi era nga balabye nti wandibaawo ekobaane olwokwagala okwezibika ensimbi zino
Minisita Kasaija ategezeza bannamawulire nti wabadewo ensobi naye bagenda kutereeza noluvanyuma akomewo eri akakiiko.