Amawulire

Minisita Janet asomoozeddwa kunsonga zábasomesa

Minisita Janet asomoozeddwa kunsonga zábasomesa

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Minisita avunanyizibwa ku byenjigiriza ne byemizannyo Janet Museveni atereddwa kunninga aveeyo anyonyole ku kwekalakaasa kwa basomesa okugenda mu maaso mu ggwanga.

Mu kwogerako ne Dembe FM, minisita mu gavt eyekisikirize owe byenjigiriza, era nga ye mubaka omukyala owa Luwero Brendah Nabukenya, alaze obwenyamivu olwa minisita avunanyizibwa kunsonga eno okusirika obusirisi nátabaako kyayogera.

Okusinzira ku Nabukenya, gavt terina lukusa kutiisatiisa basomesa kuba eremereddwa okukola ku kwemulugunya kwabwe.

Agambye nti mu byonna ebigenda mu maaso gavt esanye okunonyezebwa kuba oluvanyuma lwe myaka 2 egyomuggalo, abasomesa bali bubi kati kiyinza okubakalubirira okukolera obusente obutono.