Amawulire
Minisita Dr Aceng ali mu mbeera nnungi
Bya Juliet Nalwooga,
Minisitule evunanyizibwa ku byobulamu egamba nti minisita Dr Ruth Aceng ali mumbeera nnungi oluvanyuma lwokugemwa ekirwadde kya covid-19 olunaku lweggulo.
Okusinzira ku mwogezi wa minisitule Emmanuel Ayinebyona, amawulire agabungesebwa ku mikutu egyomutimbagano nga Aceng bwali mu mbeera embi oluvanyuma lwokugemwa si matuufu.
Ayinebyona era ategezeza nti olunaku lweggulo abantu 310 bebagemeddwa ekirwadde, ku ddwaliro e Mulago abantu 280 bebagemye ate ku ddwaliro e Entebbe 30 bebagemedwa.
Omulimo gwokugema abantu gukyagenda mu maaso ne mu disitulikiti endala eri abasawo abebyokwerinda nabalala abenkizo