Amawulire

Minisita Bugoloobi naye asindikibbwa mu Komera ku byámabaati

Minisita Bugoloobi naye asindikibbwa mu Komera ku byámabaati

Ivan Ssenabulya

April 17th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Minisita omubeezi ow’ebyensimbi n’okutekerateekera eggwanga eranga ye mubaka wa Palamenti akikirira abalonzi mu Ntenjeru North, Amos Lugoloobi asindikibwa mukomera e Luzira yebakeyo okutuusa nga 20th omwezi guno oluvanyuma lwo kkooti ewozeza abalyake okugaana okusaba kwe okwokweyimirirwa ku misango egyekuusa kutwala amabaati gavumenti geyagula okugabira abakaramoja.

Minisita asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Abert Asiimwe amusomedde emisango gyobubbi nagyegaana.

Oludda oluwaabi lugamba nti minisita ono wakati wa July 2022 ne March 2023 ku ofiisi ya ssaabaminisita e Namanve yafuna amabaati 700 nga akimanyi bulungi nti gaali ga gavumenti.

Omuwaabi wa gavumenti Stanley Moses Baine ategeezezza kkooti nti okunoonyereza ku nsonga eno kukyagenda mu maaso era n’asaba okwongerwa obudde okkumaliriza.

Minisita ng’ayita mu bannamateekaabe abadde asabye kkooti emukkirize okweyimirirwa nga yeekwasa nti mulwadde wabula kino kigaaniddwa.

Ono abadde azze n’abagenda okumweyimirira nga kuliko; Mariam Naigaga omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Namutumba, James Kakooza omubaka wa EALA MP, Dr. Kefa Kiwanuka omubaka wa palamenti wa kiboga East, n’abalala.