Amawulire

Minisita Baryomunsi simusanyufu kungeri Poliisi gyeyakutemu baminisita banne

Minisita Baryomunsi simusanyufu kungeri Poliisi gyeyakutemu baminisita banne

Ivan Ssenabulya

April 19th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Minisita avunanyizibwa ku byámawulire nókulungamya eggwanga, Dr. Chris Baryomunsi avumiridde ekya poliisi okukwata baminisita abali mu mivuyo gyámabaati mu budde nga tebasobola kutwalibwa mu kkoti.

Omu ku baminisita abasindikiddwa ku alimanda mu kkomera Amos Lugoolobi yakwatiddwa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde n’aggalirwa ku poliisi yé Kira oluvannyuma n’atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Baryomunsi agamba nti poliisi yandibadde emumala okulabikako okukwata sitatimenti wiiki eno mu kifo ky’okusula emabega w’emitayimbwa nga tannawozesebwa.

Baryomunsi mu kiseera kye kimu agamba nti tewali tteeka liragira minisita avunaanibwa okulekulira emirimu gye era nti abo abakikola okusobozesa okunoonyereza okukolebwa bakikola baagadde.

N’okutuusa kati baminisita basatu bebakakwatibbwa ku by’okubba amabaati ge Karamoja.

Abalala beeba minisita ababiri ab’ensonga z’e Karamoja, Agnes Nandutu ne Goret Kitutu.