Amawulire

Minisita ayingidde munkayana zéttaka

Minisita ayingidde munkayana zéttaka

Ivan Ssenabulya

February 11th, 2023

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Minisita omubeezi alondoola eby’enfuna Beatrice Akello ayingidde mu nkaayana eziri ku ttaka lye Nakigga mu gombolola ye Bukakkata e Masaka.

Ettaka eryogerwako liweza square miles ssatu nga gavumenti eri mu kaweefube w’okulisimbako ebinazi okutandika mu September w’omwaka guno.

Wabula gyebuvuddeko Minisita Akello yasanga ettaka lino nga liriko enkaayana naasalawo akomewo okulaba nga bagonjoola ensonga zino wakati wa bannanyi ttaka, abatuuze n’abakulembeze nga ate waliwo naabagamba nti ettaka lino liri mu ntobazi ekitasobozeza project eno kugenda maaso.

Minisita asinzidde wano naalonda Olukiiko olugenda okugonjoola ensonga zino amangu ddala.

Susan Lokwonyero nga yaakulira enteekateeka y’okulima ebinazi mu Uganda asabye abakulembeze okumalawo obutakaanya obuliwo naagamba nti singa tekikolebwa, project eno yaandiyimirira akaseera.

Omubaka wa Palamenti ow’ekitundu kino Ronald Evans Kanyike alaze okusomoozebwa kw’abakulembeze abali ku ludda olunyigiriza abatuuze kyagamba nti kiremesezza project eno okutambula.