Amawulire

Minisita atangaziza ku kiragiro kya pulezidenti ku butale

Minisita atangaziza ku kiragiro kya pulezidenti ku butale

Ivan Ssenabulya

November 15th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minister wa Kampala Minsa Kabanda azeemu nakinogaanya nti essaawa eno obutale bwonna 16 mu Kampala teri musubuzzi akkirizibwa kusasula nsimbi eri abo ababadde beeyiita abakulembezze babwo.

Kabanda bwabadde mulukungana lwamawulire akawungezi kaleero ku office ye mu Kampala ategeezeza abannawulire nti Pulezidenti yalagira KCCA yedizze obutale bwonna era entekateeka yatandika naake e Wandegeya, olwaleero babadde Wakisseka badako Nakaseero, Owino n’obulala bugoberere.

Ono atangaziza nti obukulembeze obugenda okudako okulondebwa mu makubo amatuufu, abakulembeze balina okuba nobuyigirize waakiri Dipuloma.

Kabanda ategeezeza nti abantu bawansi mu butale buno  babadde banyigirizibwa n’ensimbi ze babadde basasula nga teziyina mbalirira n’olwekyo president kyayavudde assalawo obutale okudukanyizibwa Gavumenti abasubuzi bafunne muntuyo zabwe.