Amawulire

Minisita atangaziza ku buwumbi bwénsimbi 6 zeyasaba NSSF

Minisita atangaziza ku buwumbi bwénsimbi 6 zeyasaba NSSF

Ivan Ssenabulya

February 2nd, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Minister akola ku nsonga z’abakozi n’okusitula embeera zabwe Betty Amongi avuddeyo natangaaza ku buwumbi bw’ensimbi 6 bwagambibwa okusaba okuva eri ekittavvu ky’abakozi.

Ensimbi zino kigambibwa nti akakiiko ka NSSF kagaana okuziyisa nga tebafunye kumatira ku mirimu ki egyaali gigenda okusasanyizibwako ensimbi ezo.

Wabula Minisita ategeezezza akakiiko ng’emirimu gyonna n’engeri ki ensimbi zino bwezaali zigenda okusasanyizibwa bwebyali byanjuddwa mu palamenti.