Amawulire

Minisita asabye abakulembeze okulwanyisa obufumbo bwa bato

Minisita asabye abakulembeze okulwanyisa obufumbo bwa bato

Ivan Ssenabulya

February 16th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisita ow’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulakulana y’embeera z’abantu, Betty Amongi asabye abakulembeze b’ebyobuwangwa n’eddiini okwongera okwenyigira mu kaweefube w’okumalawo obufumbo bw’abaana abato n’embuto zebafuna nga tebanetuuka.

Minisita ategeezezza nti obubi obuli mu kufumbiza abaana n’okubafunyisa embuto byongera okusajjuka wakati mu kwerimbika mu kawefube owokutumbula obuwangwa ne ddiini mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Bino yabyogeredde mu nsisinkano ne Ambasada wa Denmark mu Uganda, Signe Winding Albjerg, ku kitebe kya Minisitule mu Kampala

Mu kiseera kye kimu, Ambasada yabikudde ekyama nti ekitebe kya Denmark kiri mu nteekateeka eyókubagawo enkola gye bagenda okugoberera mu kawefube owokukuuma abakyala na baana abawala.

Era yakkaatirizza obukulu bw’okunyweza abakyala mu by’enfuna mu lutalo lw’okumalawo obutabanguko mu maka nokunyomebwa olwe kikula kyabwe.