Amawulire

Minisita Amos Lugoloobi akomawo leero mu Kooti

Minisita Amos Lugoloobi akomawo leero mu Kooti

Ivan Ssenabulya

April 20th, 2023

No comments

Minisita Omubeezi ow’eby’ensimbi avunanyizibwa kuteekerateekera eggwanga Amosi Lugoloobi, leero akomezebwawo mu Kooti okuwulira wa okusaba kw’okweyimilirwa kwe wekutuuse.

Lugoloobi  yakwatibwa ku lunaku lwakutaano sabiiti ewedde era natwalibwa ku Court ewozesa abakenuzi e Kololo omulamuzi Ebert Asiimwe namusindika ku alimanda mu komera e Luziro okutuusa leero.

Omulamuzi yategeeza nti yalina okusooka okwetegereza omugugu gw’ebiwandiiko by’obujanjabi ogwali gutwalibbwa eri Kooti ng’obujulizi ku mbeera ya Minisita ey’obulamu bwe, bannamateeka be kwebaali besigamye okusaba yeyimilirwe awozesebwe ng’ava awaka.

Ono yaggurwako emisango 2 okwali okufiiriza gavumenti wamu n’okwenyigira mu kubulankanya eky’obugagga kya gavumenti.

Lugoloobi y’omu ku ba Minisista abagambibwa okubeera eyo mu 20 abagabana ku mabaati agaalina okugenda eri abantu b’e Karamoja.

Minisita eyasooka okukwatibwa yali Mary Gorette Kitutu okwo nga kwebagasse omumyuka we Agnes Nandutu ono ng’olunaku lwa ggyo Kooti ewozesa abakenuzi yamusindise mu Kooti Enkulu bw’anaaba avudde ku alimanda nga 3/05 okutandika okwewozaako.

Olunaku lwajjo welwazibidde nga waliwo ba Minisita abalala abazizzaayo amabaati nga mu bano kuliko Nampala wa Gavumenti Hamson Obua ne Judith Nabakooba ow’eby’ettaka.

Wabula kigambibwa nti amabaati gabano tegasobodde kuyingizibwa mu store e Namanve , olw’abasirikale okuva ku kitebe kya ba mbega abaabadde bavunanyizibwa okugekebejja okulaba oba gawera obungi n’okutuukiriza ebipibo, tebasobodde kulabikako.