Amawulire

Minisita Amos Lugolobi avunaaniddwa mu Kooti y’abakenuzi

Minisita Amos Lugolobi avunaaniddwa mu Kooti y’abakenuzi

Ivan Ssenabulya

April 17th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah. Minister omubeezi ow’eby’ensimbi Amos Lugoloobi atuusiddwa mu Kooti ewozesa abalyake e Kololo okusomerwa emisango egyamuguddwako nga gyekuusa ku bikorwa eby’okubulankanya amabaati agaali ag’abantu b’e Karamoja.

Minisita Lugoloobi, yomu ku baganyurwa mu mabaati gano nga kigambibwa nti funa amabaati 600 lulambilira.

Wabula abamulabyeko batubuulidde nti webamuleetedde mu Court, ono abadde aliko kanula ku mukono akabonero akalaga nti abadde afuna obujanjabi okuva mu komera gy’abadde akuumirwa.

Ono yakwatibwa ku lunaku lwakutaano ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe bweyali agenzaako okufuluma eggwanga okugenda ku milimu emitongole.

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni, yayisizzaawo okulabula obutakkiriza muntu yenna ali mu mivuyo gy’amabaati  okuva mu gwanga okutuusa nga bino biwedde.

Ono ye Minisita ow’okubiri okuvunanibwa mu mbuga ku nsonga ‘amabaati ng’eyasooka yali Minisita Marry Gorreti Kitutu, avnanyizibwa ku nsonga za Karamoja.

Ono ku lw’okutaano lwa sabiiti ewedde, yayimburwa kakalu ka Court oluvanyuma lw’okukulungula sabiiti namba nga atemeza mabega wa mitayimbwa e Luzira.