Amawulire

Minisita alabudde abamasomero abalemedde ku kubba ebigezo

Minisita alabudde abamasomero abalemedde ku kubba ebigezo

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2022

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Ministry eye byenjigiriza erabudde nga bwegenda ku mulundi guno okwasanguza amasomero aganagezako okwenyigira mu kubba ebigezo bya kamaliriizo ebyomwaka guno.

Okusinziira ku minisita ow’ebyenjigiriza ebisookerwako, Moricu Kaducu, balabudde amasomero gano ekimala, kale essomero lyonna erigenda okukwatibwa lijja kuteekebwa mu mikutu gy’amawulire ensi yonna erimanye.

Bino Kaducu abyogeredde mu musomo ogutegekebwa buli mwaka eri abalambuzi b’amasomero mu disitulikiti/ebibuga/munisipaali ku nteekateeka z’ebigezo ebyakamaliriizo ebigenda okutandika okukolebwa okutandika nomwezi ogujja

Abayizi ba s4 bebagenda okutandiika nga 14th omwezi ogujja, aba p7 badeko ate naba s6 bakole ebyabwe.