Amawulire

Minisita akirizza abatali mu bibiina ebisemba okukola UNEB

Minisita akirizza abatali mu bibiina ebisemba okukola UNEB

Ivan Ssenabulya

February 16th, 2022

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Minisita webyenjigiriza nemizanyo Janet Museveni akirizza abayizi abali mu bibiina ebidirirra ebisemba oba semi-Candidate classes, abalina obusobozi batuule eebigezo ebyakamlirizo ebyomwaka guno 2022.

Abakirizza bewandiise, nga kikola ku bayizi aba P6 okutuula PLE, aba S3 okutuula UCE.

Omwogezi wa minisitule yebyenjigiriza nemizannyo Dr Denis Mugimba akakasizza kino, ngagambye nti baatunuliidde ensimbi ezijja okwetagibwa okubezaawo abayizi abangi mu kibiina kimu, nate omwaka ogujja, nga bagala kuziba muwaatwa.

Mungeri yeemu, ababaka ba palamenti basabiddwa okuwa endowooza zaabwe ku nkyukakyuka minisitule zeyagala okukola mu byenjigiriza bya Uganda.

Minisitule yatondawo akakiiko kebatuuma Education Policy Review Commission ku nkomerero ya 2021 okusonga ku byetaaga okukyusibwa.

Amyuka omukubiriza wa palamenti Anita Among agambye nti akakiiko kano kayita ababaka okuwa endowooza yaabwe ku nsonga eno.