Amawulire

Minisita agenda kufulumya kalenda yebyenjigiriza

Minisita agenda kufulumya kalenda yebyenjigiriza

Ivan Ssenabulya

October 1st, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Minisita owebyenjigiriza nemizannyo Janet Museveni olwaleero alindiriddwa okufulumya kalenda yebyenjigiriza empya, eyalongoseddwa nga yegenda okugobererwa mu kuggulawo amasomero, omwaka ogujja.

Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni yalagira amatendekero aga awaggulu nezi univasite ziggulewo nga 1 Novemba atenga amasomero aga primary ne secondary gaakuddamu mu January omwaka ogujja.

Kai mu mbeera eno, minisitule yebyenjigiriza nemizannyo etekeddwa okulungamya kungeri okusoma bwekunabeera

Omwogezi wa minisitule Dr Denis Mugimba akakasizza nti minisita waakusinziira mu maka gobwa pulezidenti e Nakasero, okufulumya kalenda eno.

Mungeri yeemu, abasomesa baliko okusaba kwebakoze, ngamasomero gagenda okuggulaow.

Ssabawnadiisi wekibiina ekigatta abasomesa ekya Uganda National Teachers’ Union nga ye Filbert Baguma agambye gavumenti esaanye erowooze nnyo ku budde abaana bwebamaze nga tebasoma.

Asabye nti mu kalenda empya era egenda okufuluma basaanye batekemu obudde bwokuwummula butono, kubanga abayizi bamaze ebbanga ddene awaka.

Ate ssentebbe owekibiina ekiagtta amasomero gobwananyini wansi wa National Private Educational Institutions Association nga ye Hasadu Kirabira agambye nti kalenda esaanye okukiraga nti omwaka 2021 gubadde mufu mu byenjigiriza.

Kino agambye nti kyakumalwo okutabulwa okuyinza okuberawo