Amawulire

Min Odongo ayanjiza olukalala lwa bawambibwa

Min Odongo ayanjiza olukalala lwa bawambibwa

Ivan Ssenabulya

March 4th, 2021

No comments

ByaRita Kemigisa,

Minisita avunanyizibwa kunsonga ezomunda mu ggwanga Jeje Odongo kyadaaki aleese lisiti ya bantu abawambibwa abebyokwerinda mu biseera bya kulonda.

Lisiti eriko abawambe 177 era abasing obungi baggalirwa mu barracks ya maggye e Makindye.

Olukalala luno lulaga erinnya lyomuwambe, olunaku lwebamuwamba, gye bamuwambira ensonga eyamuwambya ne gyakuumirwa.

Minisita Odongo mu kwanja olukalala lwa bawambe eri ababaka ba palamenti akawungeezi ka leero agambye nti abawambe 43 bakwatibwa mu kwekalakaasa ate 156 bakwatibwa oluvanyuma lwokusangibwa ne byokulwanyisa ne byambalo bya maggye.

17 bakwatibwa bwebaali mu nkiiko ezokwagala okuleetawo obutabanguko mu ggwanga oluvanyuma lwokulondawabula omukaaga bayimbulwa.

Odongo asabye abenganda za bawambe okugenda ku kitebe kya poliisi e Naguru mu yafeesi ya okwongera okumanya ebifa ku bantu babwe baweebwe nólukusa okubalabako.

Wabula olukalala lwa bawambe minisita lwayanjiza lwogeza ababaka ebikankana nga bagamba nti amaanya ga bawambe gasomye tegatukana ate tegalaga bantu bennyini bawambibwa