Amawulire

Min Aceng ali Kassanda kwetegereza nkwasisa yébiragiro byómuggalo

Min Aceng ali Kassanda kwetegereza nkwasisa yébiragiro byómuggalo

Ivan Ssenabulya

October 27th, 2022

No comments

Bya Barbara Nalweyiso,

Minister w’eby’obulamu Dr Jane Ruth Aceng leero atalaaze district y’e Kassanda okwetegereza enkwasisa y’omuggalo gwa Ebola ogwagiteekebwako oluvanyuma lw’obulwadde bwa Ebola okulabwako mu district eyo wamu ne ye Mubende nga kyeliisa enkuuli.

Ayogerera Ministry y’eby’obulamu Emmanuel Ainebyona, ayise ku mukutu gwe ogwa twitter nategeeza nga oluvanyuma Minister bwajja okuguulawo ekifo e Mulago kyebataddewo okujanjabira abantu abasangiddwa n’ekilwadde ki Ebola.

Webwazibidde olunaku lwa gyo nga abantu abakakasiddwa okusangibwa ne Ebola baweze 109 nga ku bano 30 bafudde, 34 bali mu kujanjabibwa era nga bakubye ku matu ate nga 45 n’okutuusa kati bakyafuna obujanjabi.

Omugatte gw’abasawo 15 nabo bakakasiddwa okukwatibwa Ebola nga ku bano 6 zembuyaga ezikaza engoye.