Amawulire

Metropolitan Lwanga agenda kuzikibwa olwaleero

Metropolitan Lwanga agenda kuzikibwa olwaleero

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abadde Ssabasumba wenzikiriza ya Orthodox, Metropolitan Jonah Lwanga agenda kuzikibwa olunnaku lwaleero.

Metropolitan Lwanga Mukama yamujulula okuva mu bulamu bwensi nga 6 Sebutemba 2021 nga yafiira mu kibuga Athens, mu gwanga lya Buyonaani gyeyali ajanjabirwa.

Oluvanyuma lwa wiiki 2, omulambo gwasobodde okukomezebwawo mu gandaalo erya sabiiti wabula nga bayambibwako omukulembeze wegwanga Yoweri Museveni.

Omugenzi yafudde kirwadde kya prostate cancer.

Archbishop Lwanga yali yalaama bamuziike ku kyalo Degeya, mu disitulikiti ye Luweero wabula wabaddewo okwebuuza kuboluganda nebakola enkyukakyuka.

Kati agenda kuzikibwa kukitebbe kyenzikiriza eno, ku lutikko wa St Nicholas e Namungoona ku ssaawa 10 olweggulo lwaleero.

Omusmba Lwanga bangi bamukungubagidde era bamwogeddeko ngomulwanirizi weddembe, abadde akolakota gavumenti olwobutali bwenkanya.

Metropolitan Jonah Lwanga, yazalibwa mu mwaka gwa 1945, emyaka egyakulmberamu, enzikiiza eno eryoke etogozebwe gavumenti mu ganda.