Amawulire

Meeya wé Nakawa yekubidde enduulu muba Uganda Railway corporation

Meeya wé Nakawa yekubidde enduulu muba Uganda Railway corporation

Ivan Ssenabulya

September 16th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Meeeya wégombolola lye Nakawa Paul Mugambe yekubidde enduulu eri ekitongole ekivunanyizibwa ku ggaali yómukka, ekya Uganda Railway corporation (URC) ku bantu bebatekateeka okugoba ku ttaka.

Gye buvudeko abékitongole URC balabula abantu bonna abesenza kuttaka lyeggaali yomukka okulyamuka mu bbanga lya myezi 6, ebbanga lino ligwako nga 1st October.

Aba URC Bagala kweyambisa ttaka lyabwe okuzza engulu ebyentambula ye ggaali yomukka nga abantu abasoba 4000 bebasubirwa okukosebwa mu ntekateeka eno.

Wabula Mugambe atubuulidde nti nga abakulembeze e Nakawa sibasanyufu kungeri gye aba railway gye bakutemu ensonga yokugoba abatuuze nga tebebuziddwako.