Amawulire

Mbabzi alumiriza police ku byo kumenya office za banamateeka

Mbabzi alumiriza police ku byo kumenya office za banamateeka

Bernard Kateregga

March 9th, 2016

No comments

File Photo : Mbabazi ngali ne Kaihura

File Photo : Mbabazi ngali ne Kaihura

Munna- Go-forward Amama Mbabzi avudeyo nalumiriza police nga bweyamenye office z’abanamatekabe ebiri amakya ga leero.
Mbabazi agamba nti waliwo obukakafu obulaga nti abaserikale 30 baalumbye office za Mugamand Mbabazi wano ku buganda road nebanyaga buli kyabademu, era nga buno bwebumu kubujulizi obwabade bulina okutwalibwa mu kooti.
Ono agamba nti babade beetegese okutwala obujulizi buno mu kkooti olunaku lwa leero, wabula nga kaakano galabika nga gabesibye

Mungeri yeemu twogedeko ne Fred Muwema natutegeeza nti bano mukugya baamenye ebinyolo bya gate, nga kwogase namakufulu gona nebatandika okukola byebaagala
Ono ategeezeza nti emapula ezisinze okutwalibwa zeezo ezikwatagana kumusango gwebakolako , era nga buno bwonna bubadde bujulizi.
Muwema agamamba nti kino kigenda kubakosa nnyo mumusango guno okutandika nga 14th.
Wabula nakaakano police tenavaayo kubaako kyeyogera
Bbo banakibina kya Uganda Peoples Progress basabye police okukola kyona ekisoboka okulaba nga amazima geeraga
Bwabade ayogerako eri banamawulire,ssabawandiis wekibiina kino Edward Segganyi atubuulide nti kinopolice erina okukola okunoonyereza nobwegenedereza okusobola okumalawo okubusabuusa