Amawulire
Mbabazi bamwegaanye ku nvanyuma
Abaddukanya wooteri ya Mbale resort awabadde walina okubeera olukiiko lw’eyali Ssabaminista Amama Mbabazi bamweganye ku ssaawa esembayo.
Bano bagamba nti ebiragiro okuva waggulu bisusse nga kati basazeewo nti Mbabazi aleme kukuba Lukiiko mu wooteri yaabwe.
Mbabazi yali yawandiikira poliisi ng’egitegeeza nti wakubeera n’olukiiko e Mbale okuva ku ssaawa nnya okutuuka ku musanvu era ng’asuubira abantu nga 350 okulwetabamu
Wabula akulira abaddukanya wooteri eno Isaiah Weboya agambye nti tebajja kusobola kukyaaza Mbabazi nga bakikoze ku lw’eby’okwerinda bye ne ku lw’omulimu gwe.
Akwanaganya emirimu gya Mbabazi mu buvanjuba Ahmed Washaki agambye nti aba wooteri eno baali bakkiriza okubawa ekifo Mbabazi w’anayogererako eri abantu kyokka nga kati babeefulidde
Washaki agamba nti asuubira nti aba wooteri batiisiddwatiisiddwa abanene mu gavumenti.