Amawulire

Mbabazi ne Mukyala we bakubonerezebwa

Ali Mivule

March 5th, 2014

No comments

Mbabazi

Ababaka mu kibiina kya NRM bagala nongosereza mu ssemateeka w’ekibiina kino

Mu byebagaala ky’eky’okulonda ssabawandiisi w;ekibiina omuto ow’amaanyi okutwaala ekibiina mu maaso.

Ng’ayogerako eri bannamawulire ku lukiiko olukulu olw’eggwanga, omwogezi w’akabondo k’ababaka ba NRM mu palamenti Evelyn Anite agambye nti era bagaala pulezidenti y’aba alonda ssabawandiisi .

Anite era agambye nti basazeewo nti ssabaminista Amama Mbabazi ne mukyala we kko n’eyali minisita Hope Mwesigye batwalibwe mu kakiiko akakwasisa empisa kubanga baawula mu kibiina.

Ono agamba nti bano tebagoberera mateeka gatwaala kibiina ekyongedde okukyawuula.

Bino bizze nga ab’akabondo kano bakalonda Minista Richard Todwong okukola emirimu gya Mbabazi mu kibiina kya NRM.

Wabula nga bano bateesa bwebati, yyo ofiisi ya Amama Mbabazi egamba nti teri Muntu ayinza okudda mu kifo kya Mbabazi okujjako nga ttabamiruka w’ekibiina asazeewo

Omwogezi wa ofiisi eno, Josephine Mayanja agamba nti Mbabazi yalondebwa ttabamiruka nga n’ababaka tebalina buyinza bulonda Muntu kukola mirimu gya Mbabazi