Amawulire

Mbabazi alabiseeko mu palamenti wakati mu mizira

Ali Mivule

September 23rd, 2014

No comments

Mbabazi in back seat

Abadde ssabaminista John Patrick Amama Mbabazi atuuse mu palamenti wakati mu mizira okuva mu babaka ba palamenti.

Mbabazi ayambadde essuuti ya blue n’ettaayi ya kyenvu ayaniriziddwa babaka banne era emirimu wano gisanyaladde.

Ayiseewo butereevu okutuuka ku ntebe y’okusatu w’atudde

Mbabazi leero lw’asoose okutuuka nga palamenti nga ssi mukulu bukyanga agobwa

Mbabazi agamba nti kimukakatako okusigala ng’akiikirira abantu be Kanungu era talina buzibu kutuula mabega

Bbo nno ababaka abasanyukidde Mbabazi babadde bangi era yye omubaka Mohammed Nsereko amuwadde Ipad ye akozese mu lutuula

Yye nno akola ku gw’okukunga abantu mu NRM Richard Todwong agamba nti eky’okugoba Mbabazi ssikyakuyuza mu bantu nga bangi bwebalowooza

Ng’ayogerako eri bannamawule e Gulu, Todwong agambye nti ebyasaliddwaliwo pulezidenti Museveni okugoba Mbabazi ssi bipya.

Todwonga agamba nti NRM ekyaali ngumu era nga nyweevu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *