Amawulire

Mbabazi ajja wa ssente- NRM

Mbabazi ajja wa ssente- NRM

Ali Mivule

June 23rd, 2015

No comments

Waliwo ekibinja ky’abakulembeze mu kibiina kya NRM abaagala okunonyereza kukolebwe ku wa eyali ssabaminisita

File Photo: Mbabazi ngali nabawagizi

File Photo: Mbabazi ngali nabawagizi

Amama Mbabazi gy’ajja ensimbi z’ayiwa mu kawefubewe ow’okwesimba ku bwa pulezidenti.

Kino kiddiridde ebyafulumidde mu mawulire nti Mbabazi y’apangisizza dda bannamateeka 500 okuwolereza abawagizi be abaakwatiddwa nga yaguze neba agenti be bonna emmotoka ne pikipiki okuyigga akalulu.

Ssentebe w’abavubuka ba NRM Denis Namara agamba yadde Mbabazi abadde mu gavumenti mu myaka 30 nga era abadde ssabawandiisi w’ekibiina,  tasobola kuba nga afunye obulindo bw’ensimbi zino.

Namara agamba poliisi esaanye okunonyereza ensulo ya ssente za Mbabazi.

Mu ngeri yeemu,

Olukiiko olukulembera ekibiina kya NRM lupangisizza abakugu abasoba mu 250 okusengeka ebyavudde mu kuwandiisa bannakibiina.

Bano baakugumba wali ku ttendekero ly’eMakerere okusengeka ebyava mu kampala.

Ssentebe w’akakiiko kebyokulonda mu kibiina kino Dr. Tanga Odoi agamba omwezi guno wegunagwerako omutendera ogusooka gunaaba guwedde.

Odoi agamba enkalala zino zezokukozesebwa mu kulond