Amawulire

Mbabazi agyiddwaako obwa ssabawandiisi- Wakubonerezebwa

Ali Mivule

March 5th, 2014

No comments

Mbabazi campaign

Amama Mbabazi ajjiddwaako emirimu gy’obwa ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM.

Kati minisita Richard Tadwong y’agenda okukola emirimu gino.

Ababaka ba NRM ababadde mu kafubo beebasazeewo bino era nga bagaala na kuleeta kiteeso nti ssabawandiisi alondebwe ssntebe w’ekibiina.

Omu ku babaka ababadde mu kafubo kano, Sam Ssimbwa agamba nti kino era bakikoze okussa mu nkola ebyasalibwaawo mu ttabamiruka w’ekibiina eyasemba mwebasalirawo nti ssabawandiisi tabeera na kifo kyonna okumusobozesa okukola emirimu gy’ekibiina.

Ssimbwa kyokka akakasizza nga Mbabazi bw’atayagala kwesimbawo kyokka nga bamuwadde omulimu gw’okukkakkanya abavubuka abagamba nti bamuwagira ku kifo kino.

Yye omwogezi w’akabondo k’ababaka ba NRM mu palamenti Everlyn Anite agambye nti Mbabazi, ne mukyala we kko ne Hope Mwesigye nabo balagiddwa okulabikako mu kakiiko k’ekibiina akakwasisa empiso ku bigambibwa nti bayuza mu kibiina.

Ebizibu bya Mbabazi byatandika okuva ababaka bano lwebatuula e Kyankwanzi nebasalawo nti Pulezidenti Museveni y’aba akwata bendera y’ekibiina mu mwaka 2016 nga tavuganyiziddwa