Amawulire

Mbabazi agenze mu kkooti

Mbabazi agenze mu kkooti

Ali Mivule

September 22nd, 2015

No comments

File Photo: Mbabazi nga kutte omugo

File Photo: Mbabazi nga kutte omugo

Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi addukidde mu kkooti ku nsonga z’okumulemesa okwebuuza ku balonzi

Ono awaabye bakozi mu kakiiko ssekinnoomu okuli akakulira Eng Badru Kiggundu, omuwandiisi Sam Rwakoojo ,omwogezi w’akakiiko Jotham Taremwa n’omumyuka we Paul Bukenya

Munnamateeka wa Mbabazi Severino Twinobusingye agambye nti abantu bano babawaabye nga sekinoomu okubayigiriza nti tebalina kulemesa mateeka.

Kino kyaddirira akakiiko akalondesa okulemerako nti Mbabazi tajja kukuba nkiiko mu kyangaala kubanga kimenya mateeka ekintu bbo kyebawakanya