Amawulire

Mazaalibwa ga sabassajja- Masengere aggulwaawo leero

Ali Mivule

April 13th, 2015

No comments

KAbaka cuts cake 2

Enkumi n’enkumi z’abantu ba ssabasajja w’owulirira bino nga batandise okutindigga engendo okwolekera olubiri lwe Bulange Mengo okwetaba ku mazaalibwa ga ssabasajja ag’emyka 60.

Ssabasajja era olunaku olwaleero lwakwasibwa ekizimbe kya Masengere ekizimbiddwa mu kusonda ettoffaali erikunganyiziddwa Katikiro Charles Peter Mayiga.

Bbyo eby’okwerinda biri ggulugulu nga poliisi n’amagye biyiiriddwa okwetolola Bulange nga n’amakubo agamu gazibiddwa.

 

Katikiro Mayiga agamba abakulembeze b’ennono n’abagavumenti yawakati basuubirwa okwetaba ku mazaalibwa ga beene agasuubirwa n’okusigula emiti.