Amawulire

Mayiga atongoza ebyuma ebizikiriza omuliro ebyómulembe ku Masiro gé Kasubi

Mayiga atongoza ebyuma ebizikiriza omuliro ebyómulembe ku Masiro gé Kasubi

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Kamala byonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, atongoza ebyuma ezizikiriza omuliro, ebyómulembo ku masiro gé Kasubi.

Buganda yakubwa enkata ekitongole kya UNESO okuyita mu gavumenti ya Japan, ya bukadde bwensimbi za dolla 50 okugula ebyuma bino, ebyetekako byokka singa Omuliro gubalukawo, okwewala embeera eyaliwo mu mwaka gwa 2020 bwegajja.

Mungeri yemu gavumenti eyawakati ekikiriddwa minisita omubeezi avunanyizibwa ku byóbulambuzi, Martin Mugarra, ekwasiza obwakabaka enyumba Bujjabukula gyebadde eddabiriza.

Katikkiro Mayiga mu kukwwasibwa enyumba eno asiimye gavumenti olw’okubasuula omukono ate ne bagizimba nga bagyeyo obuwangwa bwayo bwonna