Amawulire

Mayiga asabye gavt okwongera ensimbi mu byemizannyo

Mayiga asabye gavt okwongera ensimbi mu byemizannyo

Ivan Ssenabulya

September 24th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye government okulwana obwezizingirire okwongera ensimbi mu byemizannyo kuba ddene ery’obusizi obw’ensimbi lye busiza amaaso.

Katikkiro bino abyogedde asisinkanyemu ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gwa Basketball ekiise embuga olwaleero okuwoza olutabaalo olw’obuwanguzi bwebatukako mu mpaka za Africa bweyatuuka ku mutendera gwa quarterfinals ekintu ekibadde kitabangawo.

Katikkiro era akubiriza abazannyi okukulembeza empisa mu buli kyebakola basobole okutuuka ku buwanguzi.

Ate ye President wa Basketball mu Uganda , Nasser Sserunjogi, agambye nti nga ekibiina balina okusomozebwa naddala mu kubunyisa omuzannyo guno mu Uganda yonna, naye balina okusomozebwa kw’ebisaawe era nasaba obwakabaka okubakwatirako kunsonga eno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *