Amawulire

Mayiga asabye Gavt okuteeka ekitiibwa mu ddembe lyóbuntu omwaka ogujja

Mayiga asabye Gavt okuteeka ekitiibwa mu ddembe lyóbuntu omwaka ogujja

Ivan Ssenabulya

December 21st, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Katikkiro w’Obwakabaka bwa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye gavumenti okussa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu mu mwaka ogujja bweba Uganda egenda kulaba enfuga ya demokulasiya.

Bino abyogedde nkya ya leero bw’abadde ayogera ne bannamawulire e Bulange e Mengo.

Mayiga agamba nti Bannayuganda basaana okuba ab’eddembe n’okunyumirwa eddembe lyabwe lyobwebange mu mwaka gwa 2023 n’ategeeza nti byonna ebibaddewo mu mwaka gwetufundikira tebisaanye kweyolekera mu mwaka ogujja.

Mungeri y’emu asabye gavumenti nga bwe yeeyama okukuuma eddembe lya Bannayuganda obuteerabira kussa kitiibwa mu ddembe lya bannamawulire, n’awa amagezi nti erina okukola ebirungi basobola okubbiwandiikako mu kifo ky’okubatulugunya olw’ekyo ky’eyita okuwandiika amawulire amabi ate nga amalungi tebagalaba.

Mungeri yemu r Mayiga, asiimye bannamawulire olwómulimu gwebakolera eggwanga.

Mayiga ategezeza nti ebizibu nkumu bannamawulire byebayitamu nga bakola emirimu gyabwe wabula kiwa essanyu okulaba nti tebapondooka basigala baweereza eggwanga mu mbeera yonna.

Mayiga agamba nti wakati mu kusoomozebwa ku nsimbi entono zebakolera nga ne bebakolera oluusi tebasiima era basigala bakola.

Ono abakubiriza okusigala mu mbeera bwetyo eyóbuggumu lwe bajja okuganyulwa mu byebakola.