Amawulire

Mayiga akuutidde abantu ba Ssabasajja okufaayo kubyóbulamu byabwe

Mayiga akuutidde abantu ba Ssabasajja okufaayo kubyóbulamu byabwe

Ivan Ssenabulya

April 23rd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, akuutidde abantu ba Buganda okuteesa essira ku mpagi ya Buganda eyókukola buli kisoboka okuba abalamu.

Bino Mayiga abyogeredde mu nsisira ye byobulamu eyategekebwa obwakabaka bwa Buganda wamu ne minisitule eyobyobulamu ku mbuga ekkulu e bulange e mengo.

Ensisira eno eye nnaku esatu ngenkomekerezebwa lunaku lwankya, egenderedwamu kugema bantu ba ssabasajja ekirwadde ekya covid-19

Katikkiro eno gyasinzidde nategeeza nti obuladde bwa covid-19 kituufu bwakendeera mu ggwanga wabula nga abantu tebalina kussa mukono mu kukuuma obulamu bwabwe.

Abakubiriza okweyambisa omukisa guno okugenda okugemebwa nadala abo abali enyo mu bulabe bwokufuna ekirwadde kino nga abakadde, balina ebirwadderwadde.