Amawulire

Mayambala asabye okutwala omusango gwa Kyagulanyi ogwébyókulonda

Mayambala asabye okutwala omusango gwa Kyagulanyi ogwébyókulonda

Ivan Ssenabulya

February 25th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Eyavuganya ku ntebe eyómukulembeze wéggwanga mu kulonda okwakagwa Eng Willy Mayambala, addukidde mu kkooti nga awakanya ekyókugyayo musango gwe byokulonda Senkagale wa NUP Robert Kyagulanyi mwabadde awakanyiza obuwanguzi bwa Museveni, kati ayagala omusango guno bagumuwe.

Mu bbaluwa gyawandiikidde kkooti ensukulumu, Mayambala, awakanyiza ekya Kyagulanyi okugyayo omusango guno nga tegulamuddwa.

Kati asabye kkooti emuwe olukusa ye atwale omusango guno avunane Museveni okubba obuwanguzi bwa bannauganda

Mayambala era ategezeza nti omusango guno agwesunga nyo nasaba kkooti emulungamye agutwale mu maaso

Mu kulonda okwakagwa Mayamba yeyasiba ekira bweyafuna obululu 15014 bye ebitundu byobululu 0.15%