Amawulire

Mathiew Kanyamunyu ddaaki awereddwa okweyimirirwa

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah

Matthew Kanyamunyu, agambibwa okutemula omuntu wali e Lugogo ddaaki awereddwa okweyimirirwa mu kooti enkulu.

Ono ayimbuddwa ku kakalu ka kooti ka bukadde 10 ezibadde ezobuliwo era nebamulagira okweyanjulanga mu kooti buli mwezi.

Abantu 5 bebamweyimiridde okubadde ba kojja be, na bano basabiddwa obukadde 10 ezitali za mpeke.

Kanyamunyu ajjiddwako passporta ye eranga ssi wakutambula.

omulmuzi Wilson Kwesiga yawulidde okusaba kwa Kanyamunyu okweyimirirwa okwomulundi ogwokuna.

Ono ayise mu bannamateeka be aba Evans Ochieng, ngagamba nti alina amaka agenkalakalira awo ku Royal Palm Estate Butabika Road webayinza okumusanga.

Wabula omuwaabi wa gavumenti, Immaculate Agutoko abadde asabye Kanyamunyu obutamuyimbula ngagamba nti wabulabe eri abantu naddala eyo gyabeera.

Matthew Kanyamunyu avunanaibwa okutemula Kenneth Akena eyali omukozi mu kibiina kyobwanakyewa nga November 22nd  2016 e Lugogo ku luguudo oluva Kampala okudda e Jinja.

Ababiri banopn kigambibwa bafuna obutakanya, oluanyuma nga kigambibwa omugenzi yali akolobozza mmotoka ya Kanyamunyu.