Amawulire

Masaka: Okusika omuguwa ku kuzimba ekitebbe

Ivan Ssenabulya

April 6th, 2022

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Minisitule ya gavumenti ez’ebitundu eriko ba kamisona besindise e Masaka okunoonyereza, okuzuula ekifo ekituufu awasanidde okuzimbibwa ekitebbe kya disitulikiti eno.

Abatumiddwa kuliko Jackie Kemigisha, Okello Okot ne Swizin Mugyema nga baasisinkana abakulembeze ba disitulikiti, oluvanyuma bayolekedde e Nkuke ne Kyambazi ewali ettaka eryawebwayo okuzimbako ekitebe.

Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi yawaayo yiika 5 e Kyambazi-Kyanamukaaka ate George William Luzinda naye naawaayo yiika 5 e Nkuke-Buwunga ekyaletawo okusika omugwa ku wa awasanidde okuzimba.

Swizin Mugyema ategeezezza nti wadde olukiiko lwa disitulikiti lwali lwasalawo ku nsonga eno, waliwo abakiise abakulemberwamu Robert Tumwesigye abavaayo nebemulugunya ku kyali kisaliddwawo.