Amawulire

Mao ayogedde kukweyimirirwa kwa Ssegirinya ne Ssewanyana

Mao ayogedde kukweyimirirwa kwa Ssegirinya ne Ssewanyana

Ivan Ssenabulya

February 21st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisita w’ebyamateeka nóbwenkanya Nobert Mao, ayogedde ku ky’okuyimbula ababaka ba palamenti ababiri aba National Unity Platform okuva mu mbuzi ekogga.

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n’omubaka wa Kawempe North Mohammed Ssegirinya abaali ku limanda mu kkomera okumala emyaka nga ebiri bayimbulwa nga 13th February ku kakalu ka kkooti omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka.

Okuva lwe bayimbulwa, wabaddewo ebigambo ebigambibwa nti enteeseganya wakati w’oludda oluvuganya gavumenti ne gavumenti zakolebwa ekyabavirako okuteebwa ku kakalu ka kkooti.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina kya Democratic Party ku Balintuma road mu Kampala, Minisita Mao era nga ye pulezidenti w’ekibiina kya DP, akakasizza nti y’omu ku baali emabega w’okuyimbulwa kw’ababaka bano bombi.

Wabula agambye nti tasobola kwogera bingi bikwata ku nteeseganya ezakolebwa okuva omusango gwabwe bwe gukyali mu kkooti kyokka n’ategeeza nti kyonna kye yakoze kyabadde kya kuyamba famire zombi ez’ababaka bano ababadde munnaku olwa bantu babwe okukuumirwa mu kkomera.

Mao ategeezezza nti maama wa Ssegirinya yamusisinkanako nga tannafuuka minisita n’oluvannyuma lw’okufuuka minisita nafukamira namwegayirira akole kyonna kyasobola Mutabaniwe ayimbulwe.

Mao era yakikkaatirizza nti okweyimirirwa ddembe erituweebwa ssemateeka wadde ng’omusango gwa babaka gwayingizibwa mu ebyobufuzi.