Amawulire

Mao awabudde amawanga gannamukago mu kulwanyisa obutujju

Mao awabudde amawanga gannamukago mu kulwanyisa obutujju

Ivan Ssenabulya

November 17th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kyé byóbufuzi ekya Democratic Party kisabye wabeewo enkola eyókulwanyisa obutujju mu mawanga gannamukago eyawamu.

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa senkagale wékibiina kya DP Norbert Mao, agambye nti munkola eno kijja kwetaagisa okugabana obukugu mu byóbukesi námaggye bwekiba nti abatujju bakulinyibwa kunfeete.

Ono okwogera bino kidiridde abakambwe ba Islamic State okuvaayo ne bewaana nti babaze bakola obulumbaganyi bwa boomu mu Uganda nga nolunaku lweggulo boomu 2 ezakubiddwa omwafiiridde abantu 6 bagambye nti bebaziteze.

Mao asiimye engeri abakuuma ddembe gye bakwasaganyizamu embera olunaku lweggulo wabula nalaga obwenyamivu ol’wobutabaawo kwetegeka kimala okuyamba abakosebwa mu bulumbaganyi buno yadde nga Abazungu baali balabudda Uganda ku mbeera eno

Asabye ebitongole byobwannakyewa okukwasaganyizako abakuma ddembe mu kuyamba ababa bafunye obuzibu mu mbeera bweziti batasibwe okufa.