Amawulire

Mao alabudde bannakyewa

Mao alabudde bannakyewa

Ivan Ssenabulya

December 6th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’obwenkanya ne ssemateeka awadde bannakyewa amagezi okwewala olulimi ebyobufuzi n’okulekera awo okuyisa gavumenti ng’omulabe waabwe.

Norbert Mao bino abyogedde enkya ya leero mu kutongoza alipoota ya Access to Justice Annual Report 2021/22 e Munyonyo.

Bwabadde ayanukula ku mulanga gwa bannakyewa  mwebagalira gavumenti okuyimbulwa abantu bonna abakwatibwa mu ngeri ey’emenya amateeka, Mao akkirizza nti wadde nga wabaddewo emisango ng’abateeberezebwa bakuumibwa mu budukulu okusukka essaawa 48 eziragirwa mu mateeka, nga tebaleeteddwa mu kkooti, tekifuula gavumenti mulabe waabwe.

Omulamwa gw’omwaka guno gugambye nti  Okuwa abantu amaanyi. Okuzimba obwesigwa nokukuuma Eddembe.