Amawulire

Mao agamba waliwo obwetaavu obwekwegatta

Mao agamba waliwo obwetaavu obwekwegatta

Ivan Ssenabulya

September 30th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Minisita w’obwenkanya n’ensonga za ssemateeka Nobert Mao azzeemu okulaga obwetaavu bw’amazima n’enkola y’okutabagana ng’ekintu kyokka ekigenda okutaasa eggwanga.

Bino abyogeredde ku mukolo ogw’okujjukira olunaku lw’emirembe mu nsi yonna olukuzibwa mu Kampala.

Mao agambye nti enkolagana empya wakati wa Bannayuganda esobola okutandika singa wabaawo okukkaanya okupya.

Mao alowooza nti waliwo obwetaavu bw’okumenyawo eby’obufuzi ebyokwagala okubutikira abalala.

Ajuliza ku byobyobukulembeze bwa Uganda nga abafuzi bazooka kuva mu mambuka, ne kudako mu masekati nga kati abafuga bava mu bugwanjuba bwa ggwanga.

Okusinziira ku Mao, batandise okubagawo enkola ezigenda okuleetawo enkyukyuka buli munnauganda abeewo mu mirembe.