Amawulire

Mao agamba nti Museveni bwanaava kubyebakanyizaako wakwabulira Gavt ye

Mao agamba nti Museveni bwanaava kubyebakanyizaako wakwabulira Gavt ye

Ivan Ssenabulya

July 27th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisita  avunanyizibwa kubwenkanya nensonga z’eby’amateeka eyaakalondebwa Nobert Mao, alaze nti singa endagaano y’enkolagana gyeyaakakolebwa ne gavumenti ya NRM tekola, wakwabulira gavumenti Museveni.

Mao eranga ye pulezidenti w’ekibiina ky’ebyobufuzi eky’oludda oluvuganya gavumenti ekisinga obukulu mu ggwanga ekya Democratic Party, yabadde ayanukula abamunenya olw’endagaano gyeyakoze nga bamulabula nti tasannye kwesigulira ku pulezidenti kuba tassa kitiibwa mu ndagaano.

Wabula Mao agamba nti alina essuubi nti enjuyi zombi zijja kutuukiriza endagaano era singa Gavumenti eri mu buyinza eremererwa okutuukiriza endagaano talina buzibu nakyo kuba ekisumuluzo ekyamuyingiza mu gavt akkirina aba akyasobola okwegulira nagifuluma.

Olunaku lw’eggulo yategeezezza bannamawulire nti ekigendererwa ekikulu eky’endagaano eno kwe kukyusa obuyinza mu mirembe nga pulezidenti akwasa omukulembeze addako obuyinza mu awatali kuleetawo mbeera yakasambatuko.