Amawulire
Male Wilson addukidde mu kooti
Bya Ivan Ssenabulya
Eyavuganya ku bubaka bwa palamenti ku kaada y’ekibiina NUP, mu Mukono South Wilson Male adukidde mu kooti enkulu e Mukono nawambira akakiiko ke by’okulonda olwemivuyo egyetobeka mu kulonda.
Ono yawangulwa owa DP Fred Kayondo, wabula agambye nti okulonda kwalimu vvulugu atayogerekeka.
Ayagala kooti esazeemu okulondebwa kwa Kayondo, emulangirire ku buwanguzi.
Wilsom Male yavuganya nabanatu abalala 5, James Bisaso owa FDC, Kayondo Fred owa DP ngono yeyawangula n’obululu emitwalo 2 mu 6,512, Lukooya Francis Mukoome Ind yafuna obululu 722, Lule Andrew Ind 382, Male Wilson 4,831 n’omubaka Muyanja Johnson Ssenyonga nga yafuna omutwalo 1 mu 922.