Amawulire

Male Mabiriizi ajulidde ku musango gwe Mbale.

Male Mabiriizi ajulidde ku musango gwe Mbale.

Ivan Ssenabulya

July 27th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

 

 

Oluvanyuma lwa kooti okusala omusango gwe Mbale nesigazaawo eky’okujja ekoomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga, ye omu kubawaaba omusango guno Hassan Male Mabirizi  aliko ensonga 80  kweyesigamye okutwala okujulira mu kooti ku nsonga eno.

Ono yasinzidde mu kooti e Mbale nagamba nti tamatidde na nsala ya musango guno,kale leero akedde kuwandiika mpaaba mpya n’agenda mu kooti ensukulumu emutangaaze.

Ono okwemulugunyaakwe akukwaze omuwandiisi wa kooti eno Henry Mugoya , namutegeeza nti agenda kwanukulwa akadde konna.

Kinajukirwa nti kooti eno newankubadde yawaagidde eky’okujja ekomo ku myaka, naye eky’ababaka okweyongeza emyaka yakigobye.