Amawulire

Malaaya asse omusubuzi e Lyantonde

Malaaya asse omusubuzi e Lyantonde

Ivan Ssenabulya

August 6th, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Poliisi ye Lyantonde etandise okunonyereza ku butemu omusubuzi ow’erinnya gyagambibwa nti yatiddwa nekolera gyange.

Omugenzi ye Bosco Lutalo owemyaka 42, nga mutuuze we Kooki mu district ye Lyantonde, ngabadde musubuzi bwe ddagala lyebirme.

Ono asangiddwa mu kitaba kyomusaayi nga kigambibwa nti malaaya, yeyamufumise ebiso namuta.

Omuddumizi wa poliisi mu district ye Lyantonde Didasi Byaruhanga akaksizza ettemu lino, nagamba nti nekolera gyange bamukutte ngokunonyereza kugenda mu maaso.

Kigambibwa ntoi omukazi ono okutta Lutalo, abaddenga amulumiriz okumuttira eyali musajja we.