Amawulire

Makerere betongodde okuva mu NSSF

Makerere betongodde okuva mu NSSF

Ivan Ssenabulya

October 13th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Olukiiko olwa waggulu oluddukanya ettendekero ekkulu mu gwanga, olwa Makerere University Council basazeew okwewandukulula nabakozi baabwe mu kitavvu kyabakozi ekya National Social Security Fund (NSSF).

Kino kyadirirdde gavumenti okubawa olukusa, okutandika entekateeka eyaabwe, mwebagenda okuyita nabakozi okuterekeranga ibukadde bwabwe.

Kino baakituumye MURBS, ngolukiiko olwa Council lwasalawo kino mu lutuula lwabwe olwaomulundi ogwe 153 olwaliwo nga 6 Okitobba.

Kino kigenda kutandika okukola nga 1 July 2021, nga kitegeeza nti abakozi ssente zaabwe tezigenda kuddamu kutwalibwa mu NSSF, kubanga ssi ba memba.

Bweyatukiriddwa, omuwandiisi wa Univasite Yusuf Kiranda yakakasizza ekyasaliwawo, olukiiko lwa council.

Kinajjukirwa nti NSSF mu 2018 yawawabira Makerere University, olwobutasasaula ssente zabakozi baabwe.

Akulira NSSF, Dr Richard Byarugaba agambye nti omusango gwebawaaba gukwata ku ssente ezemabega, zebatasasula.

MURBS kati erina ba memba 3,770 ngawamu ezrimu, obuwumbi 200 abakozi zebaterekera obukadde bwabwe.