Amawulire

Makanika eyabba ensimbi gamumyuse

Makanika eyabba ensimbi gamumyuse

Ivan Ssenabulya

November 26th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,
Makanika w’amassimu wano mu Kampala agambibwa okujja ku Masajja ensimbi za Uganda emitwalo 700,000shillings agasimbaganye n’omulamuzi.
Ssekamate Ronnie myaka 37 nga mutuuze we Namasuba asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku Buganda Road Fedelis Otwoa amusindise ku alimanda mu kkomera e Luzira.
Kino kidiridde oluvanyuma lw’okumusomera emisango ebiri okuli ogw’obubbi n’okufuna ensimbi mu lukujjukujju.
Oludda oluwaabi lutegezezza kkooti nti nga September 30th 2022 ku Arua Park, Ssekamate yajja emitwalo 70 okuva ku Mambo Jimmy ng’amusubizza okumukanikira essimu ye kyatakola.
Oludda oluwaabi lugatako nti Ssekamate essimu eyamuwebwa okukanikibwa yali ya kika kya Samsung nga ebalirirwamu ensimbi za Uganda obukadde 2 era nga nayo yajibba.