Amawulire

Maj.Gen Mugisha Muntu akwatiddwa

Ali Mivule

March 28th, 2014

No comments

 teargas

Akulira ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu akwatiddwa

Ono aggaliddwa ku poliisi e ntungamo n’abalala b’akwatiddwa nabo.

Poliisi ekozesezza omukka ogubagala n’okukuba amasasi mu bbanga okugugumbulula abawagizi be ababadde bakungaanidde e Kabaale

Bano babadde bategeka kukuba lukungaana e Kabale poliisi n’erulinnyamu eggere.

Eyali akulira FDC Dr Kiiza Besigye agambye nti yye basobodde okumwetoloola okumulemesa okufuluma emmotoka era okukkakkana ng’ali mu maka ge e Rukungiri

Abavuganya bukyanga batandika kukuba nkiiko tewali n’olumu lwaali lutuukiridde nga poliisi ebalemesa

Bano nga bali wamu n’abebibiina by’obwa nnakyeewa basomesa bantu ku bwetaavu bw’okukola amateeka g’eby’okulonda amalungi olwo n’okulonda kubeere kwa mazima na bwenkanya mu mwak 2016

Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti tebajja kukkiriza bantu kukuba nkungaana okutuusa nga babogeberedde ebyo byonna ebyetaagisa

continue with efforts to stage a rally.