Amawulire

Magufuli yandiba omulwadde

Magufuli yandiba omulwadde

Ivan Ssenabulya

March 10th, 2021

No comments

Bya Daily Nation

Banaffe aba Daily Nation e Kenya olwaleero bawnadiise nti wlaiwo omukulembeze wa Africa, awereddwa ekitand mu ddwaliro lya Nairobi hospital, ngalwanagana nekirwadde kya ssenyiga omukambwe COVID-19.

Wabula bano tebalaze yaani ono, waddenga absinga balumiriza nti ye mukulembeze we gwanaga lya Tanzania, John Magufuli.

Amwulire agagenze gasasana awalala, galaga nti Magufuli, ekimbe kino kimukubye ku ndiri, nga kitutte wiiki 2 nga talabikako mu bantu.

Magufuli, azze awakanya ebya ssenyiga omukambwe, ngomwaka oguwedde mu mwezi gwokutaano yalangirira nti obulwadde buno bwali buweddewo mu gwanga lino, era nebakomya nebyokulaga ebibalo n’okubera abantu.

Tanzania bazze bagyekubako, baddemu entekateeka zokukebera nokugema, wabulanga tebanyega waddenga wlaiwo abantu bangi okuli nabakulembeze abagundiivu abafudde COVID-19 akabanga akyise.

Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Tanzania, Tundu Lissu nga wetwogerera ali mu buwanganguse ayise ku twitter nayongerayo eggulire lya Daily Nation oba retweet.