Amawulire
Magufuli bamuziika Lwakuna
Bya Musasi waffe
Abadde omukulembeze wa Tanzania John Magufuli waakuzikibwa ku Lwokuna lwa wiiki ejja nga 25 March ku butaka mu disitulikiti ye Chato.
Entekateeka z’okuziika ziranagiriddwa omukulembeze we gwanga lino omugya.
Mu ntekateeka, eyakoleddwa okukuba eriiso evvamnyuma ku mubiri gwomugenzi Magufuli, kwakubeera mu bifo ebyenjawulo.
Omubiri gwakuletebwa ku Commercial Hub e Dar es Salaam, oluvanyuma gutwalibwe mu kibuga ekikulu Dodoma, nemu kibuga Mwanza.
Omubiri gwa Magfuli oluvanyuma gwakutwalibwa mu kibuga kye Chato, gyebamuzaala, abaayo okumusibula.
Omubiri gwe gwakutekebwa ku nguudo z’ebibuga ebyenjawulo.