Amawulire

Mabirizi ayagala wabeewo akalulu kékikungo ku nfuga ya Federo

Mabirizi ayagala wabeewo akalulu kékikungo ku nfuga ya Federo

Ivan Ssenabulya

October 20th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abékisinde kya Sauti ya Wanainchi nga bakulembeddwamu Elton Joseph Mabirizi eyavuganyako ku bwa Pulezidenti, baagala akakiiko k’ebyokulonda kategeke akalulu k’ekikungo ku nkola ya Federo mu kifo ky’okwetegekera okulonda kwa bonna kw’agamba nti si kwa bwerufu

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala olwaleero, Mabirizi ategeezezza nti mu Uganda okulonda tekulina mugaso kubanga n’abakulembeze abalonde tebakyassa maanyi ku kuwa mpeereza eri ababalonda.

Agambye nti enkola ya Federo ry’ekkubo okuva bwe kiri nti egenda kusobozesa ebitundu okukola ku nsonga ezenjawulo ezibakosa ekigenda okutumbula enkulaakulana ey’amangu mu mbeera z’abantu n’ebyenfuna.

Mabirizi abikudde ekyama nti nga Sauti ya Wanainchi, batandise okukunga abantu omuli n’abakulembeze b’eddiini n’ebyobuwangwa nga babagamba obwetaavu bw’okubeera n’enkola ya federo ey’okufuga okusobola okuwagira ensonga eno.

Mungeri y’emu yeegayiridde Bannayuganda okukyusa endowooza y’okulowooza nti gavumenti ya federo ya kitundu kya Buganda songa esobola okukolebwa mu bitundu byonna olw’enkulaakulana