Amawulire

Mabirizi atutte Museveni mu mbuga zámateeka

Mabirizi atutte Museveni mu mbuga zámateeka

Ivan Ssenabulya

August 5th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Munnamateeka womukampala Male Mabirizi atutte omusango mu kkooti ya East African Court ekola kubwenkanya nga awakanya ekyomukulembeze weggwanga okukozesa signature enkadde ku biwandiko nga atekako Yoweri Kaguta Museveni kyokka nga yakyusa amaanya kati yeyita Tibuhaburwa.

Mu mpaba gyeyatadde ewomuwandiisi wa kkooti eno Kololo mu Kampala, Mabirizi agamba nti mu  2020, pulezidenti Museveni yakyusa erinnya nga tugenda mu kulonda erya Yoweri Kaguta Museveni nalyegyako neyetuuma Yoweri Tibuhaburwa Kaguta

Songa ne bweyali alayira ku kisaawe e Kololo lyeyakozesa wabula ku biwandiiko ate kukyafulumirako signature enkadde

Okusinzira ku Mabirizi, Museveni yegyako amaanya ge era kati ayagala kkooti ya East Africa okulagira nti ebiwandiiko okuli amaanyage asooka bifu era amaanya agakozesa mu bukyamu.