Amawulire

Maama wómubaka Nsubuga ategezeza kkooti nti yamwenda

Maama wómubaka Nsubuga ategezeza kkooti nti yamwenda

Ivan Ssenabulya

September 1st, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Maama w’omubaka was Busiro North Paul Nsubuga akakasiza kkooti nti yanyendera mu bufumbo nazaala omubaka oyo.

Nabawanuka Agnes ategezezza omulamuzi wa kkooti enkulu Dr Winfred Nabisinde nti abasajja babbiri yabakyanga nga kyoka nga baluganda.

Nabawanuka ategezezza kkooti nti omubaka ono yabatizibwa mu manya nga Mukalazi Peter naye bweyakula natuuka mu primary seven yamubulira ttaata we omutuufu era nebamuwa amanya nga Nsubuga Paul.

Kino kidiridde muna Dp Edgar Lubadde okukuba Nsubuga mu.kkooti ng’agamba nti teyasoma, kuba yasoka kuba Mukalazi Peter ate Oluvanyuma neyeyita Nsubuga Paul.

Lubadde nga yafuna obululu 199 mu.kulonda okwakaggwa agamba nti omubaka yasomera Nsubuga Paul.

Maama akyali mu.kaguli ka kkooti anyonyola nga bweyayenda omubaka was Busiro North Nsubuga Paul.