Amawulire

Maama ayokeza abaanabe olwókubba ebijanjalo akwatibwa

Maama ayokeza abaanabe olwókubba ebijanjalo akwatibwa

Ivan Ssenabulya

October 27th, 2023

No comments

ByaYahudu Kitunzi,  

Poliisi mu disitulikiti y’e Nakasongola ekutte omukazi ow’emyaka 27 ku bigambibwa nti yatulugunyiza bawala be babiri olwókubba enva z’ebijanjalo.

Omukwate ategerekese nga Justine Namuwonge omutuuze w’e Kyabutaika Kakooge Town Council mu disitulikiti y’e Nakasongola.

Ono yalabiddwaako ng’ayokya bawala be beyalumiriza okubba ebijanjalo.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Savannah, Sam Twinamazima ategeezeza nti abaatulugunyizibwa kuliko Fatuma Nagenda ow’emyaka 6, ne Hajara Nasuuna ow’emyaka 4.

Okunoonyereza okusoose kulaga nti maama ono yakumye esigiri n’ayokya emikono gy’abaana be nga abalanga okubba ebijanjalo.

Twinamazima agamba nti abaana bano kati bafuna bujjanjabi mu ddwaaliro lya Kakooge Health Centre III.